Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing · 173 listening Simba FM Live

Agambibwa okukabasanya ba mulekwa 3 mukwate – Kamuli

August 9, 2016 · Mubiru Ali

Police  mu Disitulikiti y’ e Kamuli egombyemu obwala omusajja wa  myaka 35 agambibwa okukabasanya abaana basatu nga abasuubizza okubawa ssikaala okusomera obwereere .

Sseduvutto ono amanyiddwa nga Omulongo Eddy Waiswa agambibwa okukkira abawala bano basatu abali wakati w’emyaka 8 ne 13 nga bonna bano bamulekwa  n’abagogombola obugogo .

Kigambibwa nti omusajja ono yaperereza omuntu avunaanyizibwa ku baana bano abamuwe kubanga yali abafunidde omuzira kisa agenda okubayambako ku bisale by’essomero .