Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 1,243 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Afumise musibe munne n’amutta lwa kisiyaga – Tororo

December 20, 2016 · Mubiru Ali

Wabaluseewo okulwanagana wakati w’abasibe 2 mu  kkomera lya Gavumenti ery’e Murikatuipe nga lino lisangibwa mu Disitulikiti y’e Tororo era okukkakkana ng’omu asfumise munne ekiso n’amutta .

Okulwanagana kuno kuvudde ku Paul Oketch nga akkukkulumira Musa Ssewannyana myaka 35 okuba nga agezaako okumulya ebisiyaga enfunda eziwerako ye  n’agaana .

Omwogezi wa Police mu bitundu by’e Bukedi, Kamuria Soali, bw’abadde ayogerako n’omusasi waffe, agambye nti abasibe bano 2 balwanye ssaawa nga musanvu ogw’ekiro nga Ssewannyana akaka Oketch ekisiyaga wabula Oketch n’akuba enddulu . Ayonegarako nti guno sigwemulundi ogusoose okuba nga Ssewannyana ovunaanibwa okulya ekisiyaga.

Gwo omulambo gwa Oketch gutwaliddwa mu ddwaliro okwekebejjebwa ate Ssewannyana aleeteddwa ku Police e Tororo era agenda kuvunaanibwa omusango gw’okutta.