Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 293 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Afumise mujjawe ekiso n’amuttirawo lwa Musajja – Namutumba

June 8, 2017 · Mubiru Ali

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze booku kyalo Lugaga ekiri mu muluka gw’e Mubango ekisangibwa mu Disitulikiti y’e Namutumba oluvannyuma lw’omukyala okulumba mujjawe n’amufumita ekiso ekimuttiddewo. 

Abamu ku beerabiddeko n’agaabwe bagambye nti Betty Musuubo y’alumbye mujjawe Rose Naabirye mu makaage n’amufumita ekiso ekimumizizza omusu nga nga balwanira musajja Timothy Mawerere .

Entabwe  nti evudde ku Timothy Mawerere okuba nga abadde amaze ssaabbiiti bbiri ng’asula wa mukyala muto ekyanyiizizza mukyala mukulu era bwatyo n’alumba mukyala muto n’amuggya mu bulamu bwensi eno obuwoomerera nga ettungulu. 

Abatuuze basobodde okukwata Musuubo ne bamukwasa Police ate omulambo gwa Naabirye gutwaliddwa mu ddwaliro lya Namayingo okwekebejjebwa !