Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 342 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Adda e Jinja olugendo lwongezeeyo

July 8, 2019 · Mubiru Ali

Aba bodaboda bagufudde mugano nga ogw’enswa nebalinnyisa ebisale era bali mu kuyoola mudidi olw’abagoba ba taxi okwediima mu Jinja n’enkingizi.

Olugendo olubadde olwenkumi ebbiri kati owa boda boda leero asasuzawo 6,000. Taxi zona zisimbye nga kati ayagala okusabaala akozesa boda boda era amakubo gona gajjudde zi boda boda.

RDC we Jinja, Erick Sakwa awadde Poliisi ebiragiro okukwaata aba taxi bonna abasangibwa nga bekalakaasa era nga abasoba mu 20 bali munkomyo.
Mu kadde kano omusaabaze okumuleeta e Kampala okuva e Jinja yetaaga emitwalo esatu ate okuva e Jinja okudda e Kamuli oba Iganga wetaaga emitwalo ebiri.