Ab’obuyinza mu Disitulikiti y’e Kiboga baweze ebyuma ebizannya zzaala mu Disitulikiti yaabwe Β .
Ssentebe wa Disitulukiti eno Israel Yiga agamba nti ebyuma bya zzaala bitumbula obwa ssemugayaavu nga n’abayizi b’amasomero bettanira bino okusinga okusoma .
Yiga agamba nti bamaze okukwatagana ne Police okukola ebikwekweto okugombamu obwala abo bonna abanaasangibwa nga bakola ku byuma bino wamu n’abo ababyeyambisa okuzannya zzaala .
Ssentebe bino abituuseeko bw’abadde mu kafubo ne munnamawulire waffe .
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.