Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Muhanga ayagala baggyewo ettaka lya Mayiro mu Buganda nga awalala balirina? News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon.
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 431 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Ab’obuyinza basaanyizzaawo kkiro z’ennyama 400 – Mbale

January 10, 2018 · Mubiru Ali

Ab'obuyinza mu Lufula ya Munisipaali y'e Mbale baliko ennyama eweramu kkilo bina (400) gyebaboye n'oluvannyuma nebagikumako omuliro nga bagiteebereza okuba nga yabbiddwa mu bitundu omuli obulwadde bw'ente (Kalusu)

Kaamaadi Walusansa akulira eby'okwerinda mu lufula ategeezezza omusasi waffe mu kitundu ekyo nti oluvannyuma lw'okubalukawo kw'ekirwadde kya Kalusu mu zi Disitulikiti eziriraanyeewo omuli Bududa,  Manafwa ne Butalejja, ab'obuyinza mu lufula eno nga bal;i wamu n'abebyokwerinda baasalawo okuwera ennyama yonna eva ebweru wa Mbale. 

Okusinziira ku Waluswaka, ennyama eyonooneddwa ebalirirwamu obukadde buna obwa ssente za Yuganda (4 Millions Shillings )