Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya ekyatinta ne leero girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga batta bibuuzo ku bibuuzo ku News: Bwoba tewalangirirwa nga muwanguzi kizibu okuwangula omusango. Bannamateeka bali ku mulyo – Baguma News: Eyali akulira ebyokulonda e Mukono Emilly Amongin eyekyuusiza mu kiti nga embazzi bweyasooka kulangilira Jonhson Muyanja Ssenyonga owa National Unity Platform ngomuwanguzi ku bwa Ssentebe bwa Disitulikiti e Mukono ate oluvannyuma nalangilira Francis Lukooya Mukooma owa National Resistance Movement
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 279 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Abitex aguddwako emisango 9

January 4, 2023 · Mubiru Ali
#Wolokoso;
Omutegesi w’ebivvulu Abbey Musinguzi aka Abitex Promotions, omulamuzi wa Kkooti y’e Makindye Iga Adiru yamusomedde emisango 9 egyamuguddwako Uganda Police Force okuli okulagajjalira obulamu bw’abantu namuteeka mu matigga ekyaviirako abantu 10 okufa emirala.
Oludda oluwaabi lugamba nti Abitex yaggalawo emiryango egiyingira ekifo nalekawo omulyango omutono gumu ogwali gutasobozesa bantu basoba mu mitwalo 2 kwetaaya oba obwabuka mu kifo kino singa waliiwo akabi akatuuseewo.
Abafa kuliko; Nakakande Hadijah, Nakanwagi Viola, Namyalo Mary, Kibuka Daniel, Hakimati Nazama, Kizito Ibrahim, Nakatumba Margret, Mwanje Shafik, n’abalala 2.
Wabula emisango gino gyonna Abitex yagyegaanyi era Munnamateeka we Erias Lukwago nategeeza nga bwagenda okulwana obwezizingirire okulaba nti omuntu we ava mu Kkomera.