Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 1,015 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Abid Alam n’abasirikale ba Poliisi 4 basindikiddwa e Kitalya

April 16, 2020 · Mubiru Ali

Abid Alam Muhamud omusigansimbi agambibwa okubeera emabega w’emivuyo gy’ettaka e Kassanda wamu n’abasirikale ba Uganda Police Force 4 abagambibwa okuba nga babadde balemesa emisango egimuvunaanibwa basimdikiddwa mu Kkomera e Kitalya okutuusa nga 8-May-2020.Abasirikale ba Poliisi kuliko; SP Wilber Osteen Wanyama n’akulira okukuuma fayiro za Poliisi Sgt. Wilson Azale, akulira okunoonyereza ku Poliisi y’e Kassanda Peter Beitera Muhanuzi ne ASP Omellano Daniel.Obujulizi obuliwo bulaga nti abatuuze b’e Kassanda baaloopa ku Poliisi e Kassanda ebikolobero byebagamba nti Abid yabibatuusaako okumuli okubakuba, okubasobyako, okuttibwa wamu n’okubagoba ku ttaka kyokka nga Poliisi ekwata Fayiro nezimuwa olwo namanya abamuwawabidde n’abagenda okumuwaako obujulizi.