Breaking
News: Gaagano amawanga gabantu nga go gasinga kwagala basajja baavu okuwasa bawala baabwe kuba abasajja abaavu balina kye babafunamu ekinene ennyo. News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December.
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 1,164 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

Abgambibwa okutta Lwomwa omubuze basindikiddwa e Luzira

March 11, 2024 · Mubiru Ali
Abantu 5 okuli n’omuwandiisi mu Kkooti ya Kisekwa Milly Naluwenda basindikiddwa ku alimanda e Luzira ku misango egyekuusa ku kutta eyali omukulu w’Ekika ky’Endiga Lwomwa omubuze Eng. Daniel Kakendo Bbosa nga 25-Febuary.
Omu ku bagambibwa okutta Lwomwa, ye Luggya Daniel ngono yasimattuka okuttibwa abatuuze ababagoba nebabakwata abadde ajjanjabwa mu Ddwaliro e Mulago gyasiibuddwa olwaleero okuleetebwa mu Kkooti.
Okunoonyereza kwa Uganda Police Force kwekwavaako okukwatibwa kwabantu abalala okuli Milly Naluwenda, Harriet Nakigguli, Joseph Nakabaale ne Ezra Mayanja.
Omulamuzi w’eddaala erisooka Adams Byarugaba ategeezezza bano 5 abategeezezza nti Kkooti ye terina buyinza kubavunaana kuba omusango gwa butemu ogulina okuwulirwa Kkooti Enkulu.
Basindikiddwa ku alimand okutuusa nga 11-April wakati mu mirango okuva mu beŋŋanda.