Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa News: Abakozi bekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 599 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Ab’Enzikiriza ya Faith of Unity bajaguza emyaka 44

March 4, 2024 · Mubiru Ali
Ab’enzikiriza ya Faith of Unity omwaka guno bajaguzza okuweza emyaka 44 era nebabakubiriza okwenyigira mu pulogulaamu za Gavumenti basobole okwegobako obwavu nga bayita mu kwekulaakulanya.
Hajjat Hadijah Uzeiye Namyaalo yasabye abantu b’e Bunyoro okwaniriza enteekateeka za Gavumenti okusobola okufuna ensimbi eziyimirizaawo amaka gaabwe. Bino Namyalo yabyogeredde mu Ttawuni y’e Muhoro mu Disitulikiti y’e Kagadi ku mukolo gwokujaguza nga bwegiweze emyaka 44 bukyanga enzikiriza eno etandikibwawo.
Ye eyatandikawo enzikiriza ya Faith of Unity, Omukama Ruhanga Owobusobozi Bisaka yebaazizza Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olwokubukanya obutebenkevu mu Ggwanga. Pulezidenti ngayita mu Office of The National Chairman NRM yawaddeyo ebintu ebyenjawulo omuli ebikozesebwa mu kutendeka emirimu egyemikono wamu n’ebyobulimi.