Ab’ennyumba ya Ssebulime mwewale Bannabyabufuzi – Enanga

Omwogezi wa Poliisi mu Ggwanga Fred Enanga avuddeyo nasaba ab’ennyumba ya Ronald Ssebulime eyatibwa omusirikale wa Poliisi Ssali nti bewale ebigambo wamu n’amagezi agabaweebwa Bannabyabufuzi bagenda basisinkane ne Poliisi.
Okwogera bino yabadde ayogerako eri Bannamawulire nga abategeeza nga ku lunaku olw’okutaano olwa wiiki eyise bwebagezaako okusisinkana ab’oluganda lwa Ssebulime nga bayambibwako Ssentebe wa LC 1 ow’e Bulaga byonna nebiggwa butaka.
Yagambye nti baali bakusisinkana Bannyina ba Ssebulime babiri, Maama we wamu ne Mukoddomi we nti naye babatuuza ku Offisi ya LC1 e Bulaga okutuusa ku ssaawa emu ey’ekiro era tebaalabikako.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Buganda kingdom to Exhibit Ancient Royal Household Items.