Breaking
News: Ndyamaggwa kye ki?Musumugumba yani? Abeddira Endiisa akabbiro kaabwe Nnaabalya, kye ki? Engule 2026 News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta luno ne leero ku nnya ekiro lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Omuwandiisi omukulu mu Minisitule yebyobulamu Dr. Diana Atwine avuddeyo nafulumya ekiwandiiko nategeeza nti Dr. Robert Candia tanayimirizibwa ku
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 485 listening Simba FM Live
News

Ab’enju ya Kalya ngabekobaanye n’abamu ku b’obuyinza mu disitulikiti ye Kayunga balumbye Embuga y’eggombolola Mumyuka

December 18, 2023 · Mubiru Ali

Ab’enju ya Kalya ngabekobaanye n’abamu ku b’obuyinza mu disitulikiti ye Kayunga balumbye Embuga y’eggombolola Mumyuka – Kayunga nebakuula emiti egibadde gyasimbibwa abantu ba Kabaka okuteekateeka oluggya lw’eggombolola eno nga bagamba nti ettaka ly’eggombolola balirinako akakwate. Bano bakubye amasasi era bagezezzaako n’okuwamba Omwami w’Omuluka Muusaale Namagabi Mw.Katumba Godfrey era mu kavuvungano kano baamukase okutuula wansi naye abantu nebamununula gyebyaggweredde nga abatamanya ngamba bano bemuludde ne badduka. Oluvannyuma lw’embeera eno eyabaddewo olunaku lw’eggulo, abantu ba Ssaabasajja baasuze ku Mbuga y’eggombolola nga balinze abalumbaganyi bano era ne gyebuli eno bakyagumbye mu kifo okulaba addamu okutabaala Embuga ya Beene.