Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 315 listening Simba FM Live

Ab’embalu bakubye abasirikale e Manafwa okuboogoloza

July 19, 2020 · Mubiru Ali

Abasirikale ba Uganda Police Force e Manafwa bakiguddeko bwebabadde bagezaako okuyimiriza omukolo gw’embalu.
Abasirikale 4 bali mu mbeera embi oluvannyuma lwokukubwa abantu ababadde ku mukolo gw’embalu bwebabadde bagezaako okuguyimiriza.
Omukolo guno gubadde gulina kubeera Namakhele, Bumukhama, Bunabutsale Subcounty mu Disitulikiti y’e Manafwa.
Bano babadde bagaaniddwa Inzu ya Masaaba okukungaana wabula neberema.
RDC Washaki agamba nti Poliisi yasabye Abantu bano okwamuka ekifo kino wabula neberema ekyawalirizza Poliisi okukuba amasasi mu bbanga n’omukka ogubalagala nerumya abamu.
Abasirikale ba Poliisi bakubye amasasi okumala akabanga era bwegabaweddeeko nebawanika abantu kwekutandika okubakuba amayinja wamu n’okubatematema
Babiri ku bano nga kuliko ne OC baddusiddwa mu Ddwaliro nga bali mu mbeera mbi nnyo.