Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 1,208 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Ab’ekiwayi kya Nambooze bakyawera

April 24, 2017 · Mubiru Ali

Ab’ekiwayi kya Nambooze ekya DP beerayiridde okugendera ddala mu maaso n’okuteekateeka enkiiko z’ekibiina mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo wadde nga Police erinnya eggere mu nteekateeka zaabwe . 

Kino kiddiridde okuba nga Police yasooka kulinnya ggere mu Lukiiko olwasooka olwali lutegekeddwa ku Nsambya Sharing Hall mu Kampala ssabiiti ewedde , ate kati n’olunaku olw’eggulo (Sande) Police yalinnye eggere mu lukiiko olwabadde lutegekeddwa  ku Tropic Inn e Masaka.

Mathias Mpuuga omu ku babadde bateeseteese olukungaana luno agamba nti omukulembeze w’ekibiina kino, Nobert Mao yeekobaana ne Police okulaba nga balinnya eggere mu nteekateeka zaabwe kubanga akizudde nti ekibiina tekikyamwetaaga.

”Enkolagana y’abamu ku bakulembeze b’ekibiina kya DP n’ekibiina ekiri mu buyinza si yankiso, ensonga y’okwogera ku bigenda mu maaso mu kibiina kyaffe tetwetaaga lukusa kuva wa muntu yenna”