Breaking
News: Ate lubadde nate aaa….okwewandiisa mu Ngule kwengedde. News: Gaagano amawanga gabantu nga go gasinga kwagala basajja baavu okuwasa bawala baabwe kuba abasajja abaavu balina kye babafunamu ekinene ennyo. News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi?
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 257 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Abeesimbyewo bayuugumya ebitundu

November 9, 2015 · Mubiru Ali
Abawagizi ba Museveni
Abawagizi ba Museveni e Luweero .
Abawagizi ba Mbabazi e Masaka
Mbabazi ng’atuuka e Masaka
Besigye e Rukungiri
Besigye e Rukungiri

 

 

 

 

 

 

 

Abeesimbyewo ku bwa Pulezidenti bwa Uganda omuli , Yoweri Kaguta Museveni atandikidde kampeyini ze mu disitulikiti ye Luweero , eyakazibwako erya Mecca wa Uganda. Eno Museveni gyeyasinzira okulwana olutalo olwaleeta Gavumenti kati eri mu buyinza.

Kaguta ayaniriziddwa namungi w’omuntu okuviira ddala e Kasana n’ebitundu ebirala byonna gy’atalaaze .
Wabula ate abalala bwebali mu lwokaano omuli John Patrick Amama Mbabazi ali e Masaka  mu ngeri y’emu yaniriziddwa mu mizira n’embuutu nga zivuga obutasirisa  ate Besigye ali e Rukungiri naye gy’ayaniriziddwa enkuyanja y’abantu  n’abalala .