Abeebijambiya basudde ekibaluwa e Mutundwe basaba nnyinimu obukadde 100

Abatemu basudde ebibaluwa mu maka ga Vincent Kyambadde e Mutundwe mu Munisipaali y’e Lubaga nga bamulaalika okutta mukyala we n’omwana singa tabawa obukadde 100, basobole okugabana ku bugagga bwe.

Docus Nagaddya mukyala wa Kyambadde ekibaluwa yakiwadde poliisi y’e Katwe n’agamba nti bba ye yasoose okulaba ekibaluwa kino nga yaakazuukuka ku makya nga baakitadde mu munyolo oguyingira mu nnyumba.

Nagaddya yagambye nti, mweraliikirivu nti bayinza okubatta kubanga akimanyi nti waliwo omuntu abali okumpi eyategeera nga, bba bwe yafuna omulimu mu kkampuni emu mu South Sudan ne babasasula ssente kyokka zonna ne ziggwaawo kyokka nga bano balowooza nti bakyazirina.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
NSSF benefits campaign attracts 360 participants