Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 437 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Ab’eddwaliro lya Case bagenda kuddiza Famire ya Radio obukadde 29

February 8, 2018 · Mubiru Ali

Abakulira eddwaliro lya Case Hospital mu Kampala bagamba nti bagenda kuwaayo eri Famire y' Omugenzi Mowzey Radio obukadde 29 ezaali zisasuddwa ku bujjanjabi mu ddwaliro lino.

Mowzey yaleetebwa mu ddwaliro lino ng'ali mu mbeera mbi okuva mu ddwaliro ly'e Nsambya  era n'ateekebwa mu kasenge k'abalwadde abali mu mbeera embi ddala wabula nga okusooka weetaagisaawo ssente okumujjanjaba era mu mbeera eno nga `kyetaagisa ssente nnyingi, Famire ya Radio yasaba okuyambibwako era bw'atyo Pulezidenti Museveni n'awaayo obukadde asatu obwa Yuganda ate ne Bryan White n'awaayo obukadde 25. 

Wabula baakawaayo ensimbi zino ate waayita nnaku bunaku Mowzey Mukama Katonda n'amujjulula mu bulamu bw'ensi eno . Ye Balaam omutegesi w'ebivvulu era abaddewo ennyo mu nsonga za Radio ategeezezza nti baali baakakozesaako obukadde 26 bwokka era ssente ezigenda okukomezebwawo zaakuweebwa Famire ya Mowzey zibayambeko.