Ow’omutuba gwa Ssekirevu e Bulenge Busujju nga ava mu ssiga lya David Kitumba Jjemba Ssekirevu yakalaatidde ab’eddira Engonge bonna okubeera obumu basobole okulwanirira ekika kyaabwe n’okwewala okwewa ebitiibwa bitanabaweebwa.
Omutaka Jjemba okwogera bino yabadde alaga omukulu w’ekika ky’Engonge omuggya Peter Kibuuka Mbobbo nga ono ava mu mutuba gwa Ssekirevu ng’omukolo gwabadde Matugga mu Ggombolola y’e Nangabo mu Disitulikiti y’e Wakiso.
Omutaka Jjemba yagambye nti wadde Ssaabasajja Kabaka amanyi Mathias Kaboggoza bbo nga ab’omutuba gwa Sekirevu tebamumanyi ng’omukulu w’ekika kyabwe, kuba ava mu mutuba gwa Beenenya nga bbo ab’Engonge tebasobola kumukkiriza kubakulira.
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.