Ab’eddiini ya Tondazim beewera kufaafaagana na Maama Fiina

Abasamize abegattira mu diini eya TONDAZIM baweze okufaafaagana ne Maama Fiina singa tabaviira ku ddiini yaabwe.

Bano bagamba nti eddiini yaabwe eriwo mu mateeka era yensonga lwaki ne Pulezidenti Museveni yabagulira ettaka e Mukono ku kyalo Ttakajunge ku lw’e Bugerere.

Omukulu w’eddiini eno mu Yuganda Mudhungu Kisegese Tekiriibwansolo agambye nti tebayinza kukkiriza muntu ataliiko mmandwa kubakulembera.

Ye Ssaabakabona w’enzikiriza eno mu nsi yonna,  Jumba Aligawesa asinzidde mu lusirika luno  oluyindidde ennaku essatu ku Alvars Hotel e Mukono n’atikkira  ba kabona abasoba mu 200 okuva mu Uganda, Rwanda, Tanzania ne Burundi era n’ababakuutira obutakolagana na Maama Fiina okujjako nga avudde mu busiraamu n’addamu okusamira.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Evans Walusimbi-Olutindo