Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
ON NOW Ekiggunda
Now Playing · 170 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM
News

Abebyokwerinda musiwuuse nnyo empisa – Katikkiro

April 28, 2023 · Mubiru Ali
Katikkiro Charles Peter Mayiga avumiridde ab’ebyokwerinda abaatyobodde eddembe ly’Abakyala ababaka ba Paalamenti.
Agambye nti ekikolwa ekyakoleddwa ab’ebyokwerinda okukuba, n’okutulugunya ababaka ba palamenti abakazi, kyabadde kibi nnyo kyoonoona ekifaananyi ky’Eggwanga.
Awabudde ebitongole ebikuuma ddembe okukwata abakyala mu ngeri ey’enjawulo singa wabaawo ensonga, okusobola okukuuma ekitiibwa ky’eggwanga, kuba obugunjufu bwalyo bupimibwa ku ngeri gye liyisaamu abakazi.