Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 439 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Ab’ebyobulamu baggaddewo lufula y’embizzi – Nansana

March 17, 2017 · Mubiru Ali

Abakulira ebyobulamu mu Municipaali y’e Nansana baggaddewo amaduuka n’obulwaliro wamu ne lufula y’embizzi mu Kibwa nebalabula abakulembeze awamu n’abasawo obuteeyibaala okuloopa obukyafu n’abantu abatakolera mu mateeka .

Ng’ oggyeko amaduuka, ebinywero awamu n’amalwaliro okuggalwa mu kikwekweto  ekikoleddwa ku kyalo kibwa mu Divisiona  y’e Nansana era mu Municipaali eno, abasawo ababadde bakulembeddwamu Robert Kagwire, bagaddewo Lufula abatuuze gyebagambye nti ebadde ebafuukidde ekyambika olwokuwunya ate n’okutambuza obukyafu.

Robert Kagwire akakasizza nga omutawaana gwonna bwebaguzudde nga guva kubulagajjavu bwa bakulembeze ate n’abasawo b’ebyobulamu.

Ayongeddeko nti eno ebadde ntandikwa naye bagenda kutalaaga kyalo ku kyalo beezuulire ebintu ebiviirako abantu abalwala obutakoma nga banoonya zi bbukya , zi kaabuyonjo, abamala gasuula kasasiro n’ebirala.

Bo abatuuze batendedde abasawo ennaku gyebazze balaba olw’ekivundu, obukyafu obuvuddeko n’abaabwe okulwala buli kadde.