ABEBIJJAMBIYA BALUMBYE KYOTERA

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Mu kiro ekikeesezza olwaleero abatamanyangamba abebijjambiya balumbye omukyala Maria Gorret Nakyanzi 61, ku kyalo Buyingi Kyango ekisangibwa mu Kasaali town council, mu Disitulikiti y’e Kyotera nebamutema ku mutwe n’emikono nebamuleka nga ataawa.
Ono ali mu ddwaliro ly’e Kaliisizo. Nga tebanamulumba kigambibwa nti basuula ebibaluwa bikirokitwalomunaku ebilabula abatuuze mu kitundu kino wiiki ewedde.
Share.

Leave A Reply