Breaking
News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 409 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Ab’ebijambiya bazzeemu okutemaatema abantu e Masaka

September 5, 2017 · Mubiru Ali

Obunkenke buzzeemu okubuutikira Masaka oluvannyuma lw’abeebijambiya okuddamu okutemaatema abantu babiri nebafiirawo  nebaleka n’abalala basatu nga bapookya n’ebiwundu mu kabuga k’e Kabonera mu Disitulikiti y’e Masaka. 

Godfrey Mujumba ne Ali Kulabako nga ono alese abaana basatu kati z’embuyaga ezikaza engoye ate Vincent Muwonge ne Kaviiri Musoga n’omulala omu atategeerekese mannya be basimattuse amagombe mu butemu buno .

Ayogerera Police mu bitundu by’omu maserengeta, Afande Lameck Kigozi asabye abatuuuze babeere bakkakkamu kubanga bano baabadde babbi bubbi era Police etandise okubayigga.