Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 152 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM
News

Ab’ebijambiya balumbye ebyalo okuli Ntebettebe e Bweyogerere ne Mbalwa mu Namugongo

August 11, 2023 · Mubiru Ali
Ab’ebijambiya balumbye ebyalo okuli Ntebettebe e Bweyogerere ne Mbalwa mu Namugongo nebatemaatema abantu babiri okuli; Josephine Mirembe ne Sharon Mugala omukozi mu Leisure Park esangibwa e Mbalwa.
Bano baddusiddwa mu Ddwalito lya Ggwatiro okusobola okufuna obujjanjabi era okusinziira ku Mirembe abazigu bano babalumbye ku ssaawa ttaano ez’ekiro nga bakutte ebijambiya nebayingira mu nnyumba nebatandika okubasaba amasimu gaabwe era bwe bagagaanidde kwekutandika okubatemaatema.
James Kalyango akulira eby’okwerinda ku kyalo agambye nti obubbi bweyongedde nnyo mu kitundu, nasaba Uganda Police Force okubongera ku bukuumi.