Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 259 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Ab’ebibaluwa kati balumbye Mubende

June 11, 2017 · Mubiru Ali

Amagye ga UPDF ne Police batandise okulawuna ekibuga Mubende olw’abantu abatandise okutisaatiisa okutuusa obulabe ku bantu b’ekitundu kino .

Aduumira Police e Mubende Patrick, Byaruhanga ategeezezza nti kino kiddiridde ebibaluwa mukaaga byebaakutte nga biwandiikiddwa abantu abatannategeerekeka nga bitiisatiisa okutuusa obulabe ku Bannamubende.

Byaruhanga ategeezezza nti ebibaluwa bino bisuulibwa ku mayumba g’abatuuze mu matumbi budde era nga n’ekikyasembyeyo kyalaalise bebaakisuulidde okweteekateeka n’essente baziteeke ku milyango gyabwe oba ssi ekyo bagenda kubatemaatem. Patrick annyonnyodde kino kibawalirizza okufuna Amagye ga UPDF okukwasizaako Police nga bano basula balawuna ekibuga  Mubende kyonna era wano nebasaba abantu mu kibuga kino okukomya okutambula ekiro ate n’okulonkoma  ensonga yonna gyebeekengera eri Police.