Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 312 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Ab’e Mukono bakaaba lwa ttaka

October 25, 2018 · Mubiru Ali
Abatuuze abakunukkiriza mu 300 abasengulwa ku ttaka ku kyalo Kirangira mu Ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono bakungaanye mu bungi nga balindiridde omukulembeze w’Eggwanga Yoweri Kaguta Museveni agenda okubasisinkana.
Bano okuva mu mwezi gw’okutaano bazze basengulwa n’okwonoonebwa ebintu omugagga Isreal Dick Banoba agamba nti bano ettaka kwe bali ye nnyiniryo.
Bano baludde nga beekubira endulu okuva mu bakulembeze n’abo buyinza ab’enjawulo nga basaba okuyambibwa.
Gye buvuddeko, akakiiko k’omulamuzi Catherine Bamugemereire akabuuliriza ku mirerembe gy’ettaka katuuka ku kyalo kino ne kawuliriza okwemulugunya kw’abatuuze. Ne Maj. Edith Nalweyiso okuva mu maka g’obwapulezidenti naye yatuuka era n’asuubiza abatuuze nti Pulezidenti Museveni yali waakutuuka mu kifo kino bongere okumubwetegeeza ku nsonga zaabbwe.