Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 1,437 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Ab’e Mubende bakukkulumira oluguudo olugenda mu maka g’obwa Pulezidenti

April 10, 2018 · Mubiru Ali

Abantu abakozesa oluguudo olugenda mu maka g’o mukulembeze w’eggwanga e Mubende beekokkodde agannya n’empompogoma ezijjudde mu luguddo luno byebagamba nti bitadde obulamu bwabwe mu matigga.

Kajura Misuseera Ssentebe w’ekyalo kya Booma hill ategeezezza nti oluguddo luno olwa Mubende Nakayima Booma Hill nga bwe luyitwamu omukulembeze w’eggwanga nga agenda mu maka ge agali e Mubende nti naye lwonna lujjudde agannya n’e mpompogoma era nga terukyayitikamu.

Kyakuwa Monica ne Nkyanzi Leticia abatuuze mu kitundu kino bategeezezza nti embeera ebasobedde olw’oluguudo olubi ennyo lwe bayitamu era nga beewunya lwaki tebafiibwako songa nga n’oluguudo luno omukulembeze w’eggwanga mw’ayita era nga waliyo ne Polojekiti nnyingi nnyo.

Ssekizivu Innocent Mayor wa Mubende Munisipalite  ku songa eno ategeezezza nti ddala kituufu oluguudo luno teruyitikamu nti naye ensimbi zebafuna ez’okukola enguudo ntono nnyo n’agumya abatuuze bano nti waliwo essuubi ery’okukola kkilomita emu ku kkilomita essatu oluguddo luno zerulina ezabaweereddwa nga ekirabo abagenda okukola ekkubo lya Mubende- Kakumiro- Kagadi- Kibaale.