Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 268 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

ab’e kyamuliibwa gavumenti ebazimbidde eddwaliro

March 21, 2019 · Mubiru Ali

Abantu be Kabaale – Maguluka e Kyamuliibwa mu Disitulikiti y’e Kalungu bafunye akamwenyumwenyu oluvannyuma lwa Gavumenti okutandika okubazimbira eddwaliro eriri ku mulembe.
RDC w’e Kalungu Paasita Caleb Tukaikiriza yeyatongozza omulimu gw’okutandika okuzimba eddwaliiro lino.
Akulira abakozi CAO Philda Nabirye Kyendibayiza ne Ssentebe wa LCV Richard Kyabaggu babaddewo ne bakakasa abatuuze nti omulimu gutandise n’obukadde 500 ezaabaweereddwa Gavumenti eya wakati.
Eddwaliiro lino erya Kabaale Health Centre II ligenda kusuumusibwa okufuuka Health Centre III ne Maternity ey’omulembe ekisannyudde abakyala ababadde bakaluubirizibwa mu by’okuzaala