Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 286 listening Simba FM Live

Ab’e Kasangombe babazimbidde eddwaliro

September 2, 2020 · Mubiru Ali

Abatuuze mu Ggombolola y’e Kasangombe bafunye akamwenyumwenyu ku matama oluvannyuma lw’eddwaliro lya Biddabugya Health Centre III okuddamu okukiriza abalwadde oluvannyuma lwokufuna ekizimbe ekipya. Okusinziira ku Fred Ssebutiko Wagaba agamba nti eddwaliro lino libadde terikyasobola kuwa ba Maama basulirira bujanjabi wadde okulongoosa olw’obutaba newabakolera olw’ebizimbe ebitono.

Omuwanika wa National Resistance Movement – NRM Rose Namayanja ng’ayita mu kibiina kye eky’obwannakyewa ekya Rose Namayanja Foundation yawaddeyo emotoka agafa e Mulago erimu buli kimu ekisobola okuwa obujanjabi obusookerwako eri abalwadde. Era basobodde n’okuzimbira eddwaliro ekizimbe ekiggya nga kiteekeddwamu nabuli kimu.