BREAKING NEWS
Observer: R. Nguse boat accident: Five more bodies retrieved MBU: Aroma exposes industry pressures and unethical exchanges Observer: Works convenes joint meeting to streamline motor vehicle registration Pulse Uganda: Missing student Victor Katungi found East News: Uganda’s Participation in the International Criminal Court: Risks Outweigh Benefits East News: Kapelebyong’s Labira Girls School Faces New Challenges as Enrollment Surges MBU: Dr. Hilderman applauds Silver Kyagulanyi’s 60% role in drafting Copyright Act Pulse Uganda: Uganda conducts Africa’s first fish census

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Ab’e Kalangala balaajana lwa masannyalaze

Ab’ekitongole ekiddukanya amasannyalaze mu District y’e Kalangala Ki Kalangala Infrustructure Service Limited (KIS) balagiddwa beewozeeko ku kigambibwa abantu abenjawulo mu District ye Kalangala nti amasannyalaze gaabwe ga buseere nga n’abantu abenjawulo babbibwa olw’okuweebwa amasanyalaze amatono.

Abatuuze mu district y’e Kalangala bamaze ebbanga nga beemulugunya nti ekitongole kino kizze kibawa amasannyalaze matono ddala songa basasula ensimbi nnyingi .

Kyokka mu kwogerako eri ab’amawulire ku Kitebe kya Kalangala Infrustructure service Limited, Akulira ba Kitunzi ba Kampuni eno Joseph Mulindwa ategeezezza nti newankubadde nga abantu beemulugunya, ekitongole kyabwe bakilanga bwemage nga emiwendo gy’amasanyalaze gigelekebwa ekitongole kya Electricity Regulatory Authority nga nabo emiwendo gyegimu gyebalina okugobelera.

Mulindwa yategeezezza nti ekitongole kino kikyalina okusoomoozebwa kwa maanyi ddala nga amasannyalaze mangi ku gaweebwa abantu mu Kalangala tegakozesebwa ekireetedde kampuni eno okubanga ekyakolera mu kufiirwa.

Ekitongole kya Kalangala Infrustructure Services Kyaweebwa omulimu gw okuddukanya amasanyalaze ku Kizinga Buggala okuva Ku Kampuni eya Uganda Electricity Distribution Company Limited era nga bano bamaze ebbanga lya myezi etaano nga batambuza amasannyalaze gano.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply