Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 196 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

ab’e kabowa batadde meeya ku nninga

January 10, 2019 · Mubiru Ali

Abatuuze b’e Kabowa batadde meeya wa munisipaali ya Lubaga Joyce Nabbosa Ssebugwawo ku nninga annyonyole lwaki KCCA eremeddwa okukola omwala gwa Nalukolongo.
Bano okuva mu mbeera kidiridde okulumbibwa ekirwadde kya kkolera n’ekitta n’abamu ku bannaabwe ate ng’abalala bali ku ndiri mu ddwaliro e Nagggulu.
Ssebugwawo okumuteeka ku nninga yabadde agenze okwegatta ku batuuze ne KCCA okukola bulungi bwansi n’okulambula zooni ezikoseddwa ekirwadde kya kkolera okuli Ssembule I ne Kironde era ng’eno ne bweyatukiddeyo ng’eriyo abaana babiri abakwatiddwa kkolera