Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 707 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Abe Busiro babanguddwa ku by’ettaka n’obutonde bwensi

June 13, 2019 · Mubiru Ali

Abantu ba Ssaabasajja Kabaka ab’omu gombolola ya Ssaabaddu Katabi, mu Ssaza lye Busiro, babanguddwa mu musomo gw’okukuuma obutonde bwensi, ettaka, n’enzimba y’ennyumba ey’abantu abatasobola kwetengerera nga bayita mu nkola ya Bulungibwansi.

Omusomo gubadde ku ssomero lya Bulega Church of Uganda primary school e bulega nalugala.

Minisita w’ettaka, obulimi, obutonde bwensi, obwegassi, ne Bulungibwansi, Owek Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo, asinzidde wano naakubiriza ba Buganda okujjumbira okwewandiisa ku bibanja bafune ebiwandiiko ebiboogerako beewale okutaataaganyizibwa nga waliwo enkulaakulana ezze mu bitundu byabwe.

Brenda Luyiga, ow’ebyempuliziganya mu kitongole kya Habitat For Humanity, asabye abantu okubeera n’ebiwandiiko by’ebibanja oba ettaka webabeera kisobozese ekitongole kino okuteeka obulungi mu nkola obweyamu bwabwe obw’okuzimbira abantu abateesobola naddala abakadde ennyumba ezisulwamu.