Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 150 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Abbisa emmundu Police emuttiddewo – Busia

November 28, 2016 · Mubiru Ali

Police mu Disitulikiti y’e Busia eriko omusajja wa myaka 33 ateeberezebwa okuba nga abadde abbisa emmundu gwekubye amasasi agamuserengesezzza e kalannamu .

Kitegeerekese nti Police abadde emulinnya akagere  wabula n’atanula okugikubamu amasasi awo neganyooka omuliro . Bino okubaawo Police ebadde ekola ekikwekweto ekikoleddwa oluvannyuma lw’abantu 4 abaagombebwa obwala abaamulonkomayo nebagamba nti babadde bakozesa emmundu eno okubba mu bitundu eby’enjawulo ku luguudo oluva e Iganga okudda e Malaba era nti ono munnaabwe yaagirina ekibadde ekituufu .

Omwogezi wa Police mu bitundu by’e Bukedi, ASP Kamulia Soari agamba nti omusajja ono abadde mutuuze ku kyalo Bugembe mu Disitulikiti y’e Jinja .