Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 363 listening Simba FM Live

Abazzukulu mbalamusizza – Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni

July 14, 2020 · Mubiru Ali

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni “Mbalamusizza Bazzukulu, oluvannyuma lw’akabanga nga nkwasaganya ekirwadde kya #COVID-19 nkomyeewo. Mwebale kuwuliriza okuwabulwa kwa Bannassaayansi ku ngeri gyosobola okwewala ekirwadde kino.
Wenjogerera nga abakazuulibwa n’obulwadde buno bali 1040 wabula nga abawonye bali 984 nga mpaawo afudde.
Ekitiibwa kidde eri Mukama.
Bino byonna bituukiddwako lwabumalirivu bwammwe nempisa. Amawanga amalala gakoseddwa nnyo ngabantu obukadde kumpi 13 bebakwatiidwa mu nsi yonna nga ku bano 569,738 bebafudde.
Mbasaba tugende mu maaso n’empisa nga bwetukola ku bintu 3 okuli; okunoonya eddagala erigema, okukebera wamu n’obujanjabi.
Awo ekyokuddamu wekiri.
Abawonye #COVID-19 okuwona kwabwe kwesigamiziddwa ku busobozi bw’emibiri gyabwe okusobola okulwanyisa ekirwadde kino nga giyambibwako abasawo. Twagala twangange ekirwadde kino butereevu.”