Abazigu bateeze owa Brac mu Mabira nebamunyagako obukadde kkumi

Poliisi mu Mabira  eri ku muyiggo gwa bazigu abaasazeko omukozi w’ekibiina ekiwola ssente ekya Brac nebamunyagako ensimbi ezikunukkiriza mu bukadde ekkumi ku kyalo Buwoola ekisangibwa mu Divizoni y'e Najjambe

Okusinziira ku Kkansala w’ekitundu kino Nathan Mukiibi, agamba nti  omukozi w'e Kitongole kino ekya Brac bw'abadde adda ku yafeesi zaabwe e Jinja oluvanyuma lw’okukunganya ensimbi okuva mu ba memba wabula bwe baabadde ku kubo abazigu kwe kufubutuka mu kibira nebabateeka ebiso ku bulago bw’omugoba wa bodaboda bwebatyo nebalagira omukyala ono abawe ensimbi.

Oluvanyuma lw’okumuggyako ensawo omubadde ensimbi, abazigu badduse nga badda mu kibira Mabira 

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Kizza Beisgye atwaliddwa ku Poliisi e Mityana