abazigu basse abaana bataano e kyenjojo

Abaana 5 nga bamusuubuzi ku kyalo Kahompo, mu sub-county y’e Bufunjo mu Disitulikiti y’e Kyenjojo batiddwa abantu abatanategeerekeka abamenye nebayingira mu nnyumba.

Atuhairwe Barbra 7, Alinganiza Oscar 4, Ayinebyona Linet 3, Tulinomugisha Devis 2 ne Abwooli owomwezi ogumu bonna nga baana ba Tumwebaze Joseph. Bino byonna byabaddewo ku ssaawa nga musanvu ogw’ekiro abantu abatanategeerekeka bwebayasizza endabirwamu z’oluggyi nebayingira mu nnyumba mwebasanze Akampulira Gerald nebamusibira mu kisenge kye, bwebatuuse mu ky’omwami basanzeemu mukyala we nebamubuuza mwami we gyaali wamu ne ssente.

Bwebakitegeddeeko nti Tumwebaze yabadde agenze Kasese kwekusalasala abaana be bonna nebabatta wamu n’okukuba mukyala we nebamutwala nebamusuula mu mugga gw’e Kawompo abazira kisa gyebamusanze nebamutwala mu Ddwaliro.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Kitalo! Ekikomera kikubye ennyumba nekitta 5