Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 264 listening Simba FM Live

Abazadde beesuuliddeyo gwa Nnagamba ku byetaago by’amasomero – Commissioner Kyaka .

May 6, 2016 · Mubiru Ali

Abakungu okuva mu Minisitule ye byenjgiriza bagamba nti newankubadde gavumenti yasaawo okusoma  okwobwereere mu Ssekondale ne Pulayimale , abazadde abamu beesuliddeyo gwa Nnaggamba okutuukiriza obuvuunaanyizibwa bwabwe okuwa abaana baabwe ebyetaago by’essomero ekiviiriddeko abaana bangi okuwanduka mu masomero mu byalo .

Alfred Kyaka Commissioner w’ebyenjigiriza bya secondale mu Minisitule ye byenjigiriza n’emizannyo agamba nti okunoonyereza kulaga nti abaana abamu bawanduka mu masomero olw’abazadde abamu obutategeera mugaso gwa kusoma .

Kyaka ayongerako nti abazadde abamu balowooza nti Gavumenti y’erina okuwaayo buli kimu ky’agamba nti kikyamu nga balina okukyusa mu ndowooza eno .

Okutuuka ku bino abadde ayogerako eri abakulu b’amasomero n’abakungu  okuva mu kitongole kya BRAC  – Yuganda ekiyambako ku bayizi abalina ebitone eby’enjawulo naye nga bava mu maka agatalina busobozi bumala mu by’enfuna .