Breaking
News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing · 1,154 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Abazadde abeegaana abaana baabwe baakusibwa – Nakiwala

May 8, 2018 · Mubiru Ali

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’abaana n’abavubuka mu Gavumenti eya wakati Florence Nakiwala Kiyingi agamba nti batandise kaweefube w’okunoonya n’okulondoola abazadde abeegaana abaana baabwe era nga singa banakwatibwako, bajja kusibibwanga. 

Kino kijjidde mu kiseera nga Minisita y’omu ono yAakamala okuwoma omutwe mu kulaba nga omuyimbi wa Kadongokamu omututumufu Mathias Walukagga akakibwa okulabirira omwana agambibwa okuba nga yamuzaala mu mukozi we ow’ewaka kyokka n’amwegaana.

Minisita Nakiwala agamba nti gufuuze muze kati abasajja okusuulawo abakyala nga babafunyisiza embuto ate abaana bwebazaalibwa ne babeegaana.

Ono abadde akubaganya ebirowoozo ku mulamwa ogugamba nti

“Okukuza abaana nga bafaayo wamu n’okussa ekitiibwa mu buli muntu” nga bino biyindidde mu Ttabamiruka w’abakyala ba Buganda ow’omulundi ogw’okutaano.

Ono ayongeddeko nti Minisitule  ye mu ngeri y’emu eno egenda kutandikira ku baana abali ku nguudo, okubaggyako era balondoole wa ba kitaabwe gyebali basobole okuteekebwa ku nninga okulabirira abaana baabwe.