Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 105 listening Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM

Abayizi b’essomero 3 bafiiridde mu kabenje ,49 bapookya

October 4, 2016 · Mubiru Ali

Abayizi bana mu Ssomero lya Buyaaka Parents SS mu Disitulikiti y’e Bulambuli bafiiriddewo mbulaga n’abalala 49 ne baddusibwa mu ddwaliro e Mbale nga taasulewo taasiibewo y’ali ku mimwa Oluvannyuma lw’okugwa ku kabenje nga bagenda okulambula e Kampala enkya ya leero.

Akabemje kano kagudde ku kyalo Karampete ku luguudo mwasanjala oluva e Mbale okudda e Tirinyi, nga Bus abayizi bano mwebabadde batambulira omugoba waayo abadde agisimbye ku mabbali g’oluguudo abaana basobole okweteewuluzaako wabula Bus ya Kampuni ya Gateway n’egitomera neyeerindiggula eri nga n’abaana bakyalimu era bana nebafiiramu nga basatu babadde ba Siniya yaakuna.

Aduumira Police y’ebidduka mu Bukedi region Okog Paul akakasizza akabenje kano.