Breaking
News: Olutindo-Nsamba-Okufa kwa Oyo kwanise obubbi nokweyagaliza mu bantu Gavumenti erina omukono mubuvuyo News: Omusuuga Charles Kayondo Kamurasi, 80 Ffe Abatooro ekirabo Omukama Katonda kyetatuwa, bwetusalawo tuba tusazeewo tetukyuusa, ekyo ne Pulezidenti News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya ekyatinta buli lunaku ku nnya ezekiro okuva ku Bbalaza okutuuka ku Lwokutaano.
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 376 listening Simba FM Live
News

Abayizi bangi abasiba tution mu zzaala – Prof. Nawangwe

March 13, 2024 · Mubiru Ali

Ssenkulu wa Makerere University Prof. Barnabas Nawangwe yavuddeyo nategeeza nga abayizi abasiba mu 1000 buli mwaka abalemererwa okumalako okusoma lwakusiba ssente za tuition mu zzaala kayite akapapula. Nawangwe agamba nti bakola okunoonyereza nebakizuula nti abayizi bangi abalemererwa okusasula tution lwakuzisiba bafunemu amagoba mu kapapula nebabakuba.
Ono agamba nti abayizi bano bagenda mu maaso nebalimba bazadde baabwe nga bwebamalirizza emisomo nebatuuka n’okubaleeta mu Freedom Square ku lunaku lw’amatikkira so nga babadde tebasoma. Bano batimba bakadde baabwe bbula bwebatawulira mannya gaabwe nga gasomwa ku muzindaalo.
Yawadde ekyokulabirako nti mu mwaka gwa 2023 waliwo omuyizi eyatuuka nokwewamba neyesala ku bazadde be, mikwano gye wamu n’abeŋŋanda ze oluvannyuma lwokusiba ssente mu kapapula nebamukuba.