Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 259 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Abayizi bakubiddwa ebifunfugu by’ekizimbe ky’essomero, bapookya – Mubende

July 21, 2017 · Mubiru Ali

Abayizi bana mu ssomero lya St. Kizito Primary School mu ggombolola y’e Kitenga ekisangibwa mu Disitulikiti y’e Mubende baddusiddwa mu ddwaliro nga baleebaleeba oluvannyuma lw’okukubwa ebifunfugu by’ekizimbe awamu n’okutemwa amabaati. 

Kino kiddiridde namuttikwa w’enkuba efudembye mu kitundu kino atikkuddeko obusolya bw’ebizimbe by’essomero lya St. Kizito Primary School ne bikuba abayizi bano era Ssentebe w’eggombolola y’e Kitenga akakasizza bino n’agamba nti ssi bizimbe bya ssomero lino byokka, naye n’akasolya ka  Eklezia y’e Busenya ekalese ku ttaka ssaako n’obusolya bw’ennyumba z’abatuuze ezisukka mu abiri.