Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing ยท 1,204 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Abayizi bagudde ku kabenje Entebe

July 12, 2019 · Mubiru Ali

Abayizi b’essomero lya St. Agnes Primary School erisangibwa mu Entebe Municipality, mu Disitulikiti y’e Wakiso bagudde ku kabenje oluvannyuma lwa Coaster mwebabadde batambulira okutomeregana ne loole neggwa.

Bano babadde boolekera Lugogo mu Kampala gyebabadde bagenda okuvuganya mu mpaka za ‘Inter Schools Cricket and Wood Ball Games’. Wabula bwebabadde batuuka ku Victoria Mall Coaster mwebabadde batambulira netomeregana ne Loole ya kkampuni ya Movit ebadde eva e Kampala nga edda Ntebe.

Okusinziira ku babaddewo bagamba nti Ddeereva wa loole ya Movit akoze U-Turn natomera Coaster neyefuula. Abayizi abalumiziddwa baddusiddwa mu ddwaliro lya Entebe Grade B Referral Hospital ne Emmanuel Hospital e Katabi.