Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 111 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

Abayizi ba Pulayimale bakkirizza nti banywa enjaga – Kabale

July 11, 2016 · Mubiru Ali

Abayizi ba Pulayimale nga bawera 30 mu ssomero lya Muyumbu Primary School erisangibwa mu gombolola ye Kyanamira mu disitulikiti ye Kabale beetonze olw’okunywa enjaga . 

Okusinziira ku batwala essomero lino, bagamba nti oluusi abaana bano babadde bagoba n’abasomesa mu bibiina .

Akulira esssomero lino Charles Akankwasa agamba nti baafuna amawulire ku ntandikwa y’olusoma olwayita nti abamu ku bayizi baabwe banywa enjaga ekyabawaliriza okutandika okukola okunoonyereza ku nsonga eno 

Mu kunoonyereza agamba nti abayizi abamu naddala abava mu bitundu enjaga gy’erimwa okufunamu ssente begaana obutagikozesa . 

Akankwasa  agamba nti ensonga eno bagikwasizza Police n’abobuyinza ku disitulikiti basobole okugifunira eddagala .

Wabula Akankwasa agamba nti okunywa enjaga kittattanye empisa z’abayizi nga okwosa n’obutassa kitiibwa mu basomesa be baana baliwo .