Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Awali Omukka
Now Playing ยท 350 listening Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM

Abayizi ba Makerere Yunivasite banyoomye ekiragiro kya Police okwamuka ebisulo

November 4, 2016 · Mubiru Ali

Abayizi ku ttendekero ekkulu e Makerere banyoomye ekiragiro ekyabaweereddwa Police okwamuka ebisulo eby’enjawulo oluvannyuma lw’okuggala ettendekero.

Bano bagamba nti kikontana n’amateeka kubanga ettendekero ekkulu ery’ e Makerere ssiryeliddukanya ebisulo mwebasula.

Omwogezi wa, Police Andrew Fellix Kaweesi ku lwokusatu lwa ssabbiiti eno yalagira abayizi bonna abali mu bisulo eby’enjawulo awamu n’ebisulo ebiriraanye ettendekero okubyamuka mangu naye nga kino kyava ku Pulezidenti Museveni okuggala ettendekero lino oluvannyuma lw’abayizi awamu n’abasomesa okwediima .

Wabula byo ebisulo eby’enjawulo byawalirizibwa okusaba abanyizi okwamuka ebisulo bino nga byawandiika ebiwandiiko naye bo abayizi bagamba nti baamala dda okusasula ebisale eby’ebisulo byonna nebabimalayo y’ensonga lwaki tebagenda kubyamuka kubanga ettendekero ย ly’e Makerere ate ssiryeriddukanya ebisulo mwebasula .