Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 116 listening Simba FM Live
News

Abayizi abasoba mu 150 bateeberezebwa okuweebwa obutwa

July 21, 2023 · Mubiru Ali

Waliwo abayizi abakunukiriza mu 150 ku ssomero lya Nakanyonyi Senior Secondary School erisangibwa Nakanyonyi mu Disitulikiti y’e Mukono abaddusiddwa mu Ddwaliro nga biwala ttaka nga kigambibwa nti bandiba nga balidde emmere erimu obutwa.
Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire agamba nti emmere gyebaliddeko etwaliddwa mu Government Analytical Laboratory mu Kampala okwekebegyebwa.