Abayizi 5 bakubiddwa amasannyalaze mu wiiki emu – Bugisu

Abayizi bataano beebaakakubwa amasannyalaze mu bitundu bya Bugisu mu bbanga lya ssabbiiti emu eyise era nga bano amasannyalaze gazze gabakubira mu bifo ebitali bimu.

Eyaakasembayo okukubwa amasannyalaze gaamukuba ku Lwakutaano lwa ssabbiiti ewedde era nga ono yali wa mu Namunsi Central mu Mbale nga ye Ashim Ssemakula nga abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti waya y’amasannyalaze yawanuse ku muti n’ekuba omwana ono n’afiirawo.

Kinajjukirwa nti ku bbalaza ya wiiki ewedde  nga 09 abayizi babiri okuva mu ssomero lya Makuyu Pulayimale School baakubwa amasannyalaze nebafiirawo.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Lwaki otulugunya omusibe – AIGP Yiga