Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 108 listening Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM
News

Abayizi 2 bakwatiddwa lwakuwandiika bbaluwa ya ADF etiisatiisa

July 11, 2023 · Mubiru Ali
Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga Poliisi mu bitundu bya Greater Bushenyi ne Sheema bwekutte abayizi 2 aba S1 ku ssomero lya St. Charles Lwanga High School lwokuwandiika bibabula kiro kitwala omunaku nga bitiisatiisa olulumba lwa ADF ku ssomero. Abakwatiddwa kuliko Mwesigye Innocent ne Ayebare Benon era nga obujulizi bulaga nti bano nga 5.07.2023, abakulira essomero basanga ebibaluwa ebyali bisuuliddwa nga biraga nti abayeekera bagenda kulumba essomero lya St Charles Lwanga High School n’amala 2 e Kasese okuli; St Andrews Primary School ne Kibingo Primary School ebyasuulibwa ku mulyango ogumu ogw’ekibiina.
Oluvannyuma lwokunoonyereza kyazuuliddwa nti bino byawandiikibwa Mwesigye Innocent, 16 owa S1C ne munne Ayebare Amon 17 owa S1 A. Bano bagamba nti babadde baagala kutiisa bakulira ssomero oluvannyuma lwokubabonerezo bwebabawabidde okukola effujjo mu Dormitory.