Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Ekiggunda
Now Playing ยท 58 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM

Abayizi 2 bafiiridde ku Bbiiki – Nabugabo

July 25, 2016 · Mubiru Ali

Abayizi 2 Ronald Kyazze myaka 16 ng’abadde asoma siniya ya kusatu mu ssomero lya Prince Kalema SS e Mpugwe mu Disitulikiti y’e Masaka ne Mutambuze Frank myaka 19 nga ye abadde asoma siniya yaakuna mu ssomero lya St. Joseph Bukomansimbi, bafiiridde mu Mazzi ga Nabugabo Bbiiki esangibwa mu Disitulikiti y’e Masaka.

Abayizi bano okufa babadde bagenze ku kabaga ka Leavers Party nga baatwaliddwa omukulu w’essomero lya Prince Kalema. Abayizi bano bwebaatuuse okuwuga nebagenda awali amazzi amangi era nebafiirayo.

Omusasi waffe waatuweeredde eggulire lino nga Police yaakannyululayo omulambo gumu ogwa Kyazze naye nga omulala gukyabuze.