Breaking
News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe News: Abanoonyi bobuddamu bakedde kwekalakaasiza ku kitebe kyAmawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku banoonyi bobuddamu ekya United Nations High
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 103 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Abayisiraamu basadde Eid Aduha

September 12, 2016 · Mubiru Ali

Abayisiraamu okwetoloola ensi yonna olwaleero basadde Eid Aduha olunaku olujaguzibwa bulu mwaka olwokujjukirwako empisa ey’okusaddaaka ebisolo eri katonda .

Wano mu ggwanga lyattu Yuganda okusaala kubadde mu bifo eby’enjawulo okwetoloola eggwanga lyonna ku mizikiti ne mu bibangiriza abaddu ba Allah mwekungaanidde okukuza olunaku luno.

Ku Muziloti e Kampala mukadde okusaala kukulembeddwamu Mufti wa Yuganda Sheikh Ramadhan Mubajje asinzidde muno n’asaba abayisiraamu okunywerera ku ddiini yaabwe ate n’okusala ebisolo leero batuukirize ennono eno wanu n’okuwa abo abatalina.

Kimannyiddwa nti ku Eid eno, ebisolo ebisalibwa olw’okusaddaaka mulimu ; Ente, Embuzi, Endiga, Engamiya eranga nga ennyama eteekebwa mu miteeko esatu: ogwa abaawaka, abatalina ate n’emikwano.                Muyogeeyoge.