Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 255 listening Simba FM Live

Abayimbi tuwagire Bobi Wine yamanyi obulumi bwaffe – Big Eye

July 22, 2020 · Mubiru Ali
Omuyimbi Mayanja Ibrahim aka Big Eye StarBoss avuddeyo; “Teri muyimbi ali bulungi, okuva Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine lweyavaayo nategeeza nti agenda kwesimba ku Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni. Wadde naffe abawagira National Resistance Movement – NRM tekitutaliza.
Ebikolobero bingi ebigenda okukolebwa okutataganya ekisaawe ky’okuyimba. Bayimbi banange muzibuke amaaso, tulabye emikutu gy’empuliziganya nga gisasulwa okwonoona ekifaananyi ky’abayimbi. Bwemba sirimbye tuyinza okuba nga ffe tuviiriddeko eggwanga lino okubeera mu muggalo tuleme kutegeka bivvulu tufune ssente. Ndowooza tuyimirire wamu ne Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu anategeera obulumi bwetuyitamu.
#ItsTimeForMatters
#OpenTheCountry🇺🇬
#BigEye